1Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
2omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
3Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo.
4Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira.
5Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.”
6Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
7Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri.
8Kubanga bw’abanenya ayogera nti,
9Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
10“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
11Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
12Era ndibasaasira,
13Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.