We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Matayo 12

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Matayo 11 Matayo Matayo 13 →

1Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya.

2Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”

3Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo?

4Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya.

5Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango?

6Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano.

7Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango.

8Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

9N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe.

10Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.12:10 Okuwonyezebwa ku Ssabbiiti kyali tekikkirizibwa bayigiriza b’amateeka okuggyako nga kirowoozebwa okuba ng’omuntu oyo omulwadde taalame okutuusa enkeera. Omusajja eyali akozimbye omukono yali tagenda kufa ku lunaku olwo lwennyini wadde enkeera Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.

11Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu?

12Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”

13Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!

14Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.

15Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna,

16kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza.

17Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:

18“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,

19Taliyomba so talireekaana,

20Talimenya lumuli lunafu,

21Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”

22Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba.

23Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

24Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”

25Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.

26Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya?

27Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango.

28Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

29“Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.

30“Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.

31Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa.

32Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

33“Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala.

34Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.

35Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi.

36Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango.

37Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

38Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”

39Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona.

40Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro.

41Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano.

42Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.

43“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira.

44Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke.

45Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”

46Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.

47Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”

48Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?”

49N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange!

50Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

← Matayo 11 Matayo Matayo 13 →

Matayo 12 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™