1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2Ibulayimu yazaala Isaaka,
3Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,
4Laamu yazaala Aminadaabu,
5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,
6Yese yazaala Kabaka Dawudi.
7Sulemaani yazaala Lekobowaamu,
8Asa n’azaala Yekosafaati,
9Uzziya n’azaala Yosamu,
10Keezeekiya n’azaala Manaase,
11Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:
13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,
14Azoli n’azaala Zadooki,
15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,
16Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
18Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
19Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
21Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,
23“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we.
25Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.