We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Abakkolosaayi 3

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Abakkolosaayi 2 Abakkolosaayi Abakkolosaayi 4 →

1Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

2Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,

3kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda.

4Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

5Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.

6Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo,

7ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga.

8Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.

9Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,

10ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.

11Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.

13Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.

14Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

16Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.

17Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

18Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.

23Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

24nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;

25kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

← Abakkolosaayi 2 Abakkolosaayi Abakkolosaayi 4 →

Abakkolosaayi 3 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™