1Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.
2Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.
3Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.”
4Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,
6mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda.
8Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe
9n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,
10Era n’ayongera n’agamba nti:
11Era nate nti,
12Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,
13Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
14Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana.
15Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda,
16kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
17Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda;
18kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa,
19ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko15:19 Iruliko: mu biro bino y’ensi ya Yugosiloviya mu nsi z’Ebulaaya, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
20Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala,
21nga bwe kyawandiikibwa nti,
22Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli;
23naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo,
24bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka.
25Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu.
26Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi.
27Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri.
28Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya.
29Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja n’omukisa gwa Kristo mu bujjuvu.
30Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
31mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi,
32ndyoke nsobole okujja gye muli olw’okwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu.
33Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.