1Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa.
2Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera.
3Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda.
4Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
5Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.”
6Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu)
7newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)”
8Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira.
9Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.
10Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka.
11Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.”
12Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola.
13Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
14Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
15Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
16Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?”
17Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.
18Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,
19Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:
20Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,
21Naye eri Isirayiri agamba nti,