We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Ebyabaleevi 24

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Ebyabaleevi 23 Ebyabaleevi Ebyabaleevi 25 →

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,

2“Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako.

3Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja.

4Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.

5“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa24:5 Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu.

6Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama.

7Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro.

8Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe.

9Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”

10Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira24:10 Mu kuva e Misiri, waaliwo bannaggwanga abeegatta ku Bayisirayiri (Kuv 12:38) era baali kyakulabirako kibi eri Abayisirayiri (Kbl 11:4). Noolwekyo kino kireeta Essuula empya ku biragiro ebikwata ne ku bannaggwanga.

11Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani.

12Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.

13Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,

14“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja.

15Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo.

16Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga Erinnya24:16 Erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

17“Anattanga omuntu naye anattibwanga.

18Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo.

19Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako:

20obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga.

21Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga.

22Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

← Ebyabaleevi 23 Ebyabaleevi Ebyabaleevi 25 →

Ebyabaleevi 24 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™