We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Ebyabaleevi 22

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Ebyabaleevi 21 Ebyabaleevi Ebyabaleevi 23 →

1Mukama Katonda n’agamba Musa nti,

2“Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda.

3Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda.

4Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo,

5oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana.

6Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi.

7Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye.

8Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.

9Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.

10“Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.

11Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo.

12Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.

13Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.

14Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona.

15Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama,

16nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”

17Awo Mukama n’agamba Musa nti,

18“Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira,

19kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe.

20Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga.

21Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo.

22Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa.

23Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo.

24Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe,

25wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”

26Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,

27“Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro.

28Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu.

29Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa.

30Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda.

31“Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda.

32Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe,

33era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.”

← Ebyabaleevi 21 Ebyabaleevi Ebyabaleevi 23 →

Ebyabaleevi 22 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™