1Awo ku lunaku Lwassande24:1 Lwassande, lwe lunaku olusooka mu wiiki, lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana.
2Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali.
3Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu.
4Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu.
5Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana?
6Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
7‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ”
8Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.
9Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo:
10Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo.
11Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza.
12Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
13Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi.
14Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu.
15Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo.
16Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.
17Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”
18Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
19Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna.
20Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri.
22Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana,
23naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu!
24Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”
25Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza!
26Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
28Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo,
29naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.
30Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa.
31Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako!
32Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
33Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye,
34nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!”
35Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.
36Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!”
37Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu!
38Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe?
39Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”
40Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye.
41Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?”
42Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye,
43n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!
44N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”
45N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa.
46N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu.
47Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.
48Muli bajulirwa b’ebyo,
49Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”
50Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa.
51Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu.
52Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi.
53Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.