1Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu.
2Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda.
3Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango.
4Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga.
5Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
6Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,
7Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
8Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
9Abakadde si be bokka abalina amagezi,
10“Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
11Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
12Nabawulirizza bulungi.
13Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
14Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
15“Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
16Kaakano nsirike busirisi,
17Nange nnina eky’okwogera,
18kubanga nzijjudde ebigambo,
19Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
20Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
21Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
22Kubanga singa mpaaniriza,