We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Balam 10

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Balam 9 Balam Balam 11 →

1Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi.

2N’akulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n’aziikibwa mu Samiri.

3Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.

4Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero.

5Yayiri n’afa n’aziikibwa mu Kamoni.

6Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ab’e Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda b’Abafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza.

7Mukama n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni,

8abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi.

9Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo.

10Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”

11Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti,

12n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni,10:12 Abamawoni abo baali ba njawulo ku bantu abaabeeranga mu Mawoni ekya Yuda. bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe?

13Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate.

14Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”

15Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.

16Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”

17Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa.

18Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”

← Balam 9 Balam Balam 11 →

Balam 10 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™