1Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri
2e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”
3Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.
4Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
5Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
6N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
7Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.
8Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
9Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino:
10bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
11Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe.
13Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo,
14ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo,
15ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo,
16ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
17Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba
18ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
19Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
20Eri Abakokasi21:20 Abakokasi Tebaali bakabona kubanga tebaali bazzukulu ba Alooni. abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
21N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo,
22ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,
23ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo,
24Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
25Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
26Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.
27N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,
28Ne mu kika kya Isakaali,
29Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
30ne mu kika kya Aseri,
31Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
32Ne mu kika kya Nafutaali,
33Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
34Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa
35Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
36Ne mu kika kya Lewubeeni,
37Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
38Ne mu kika kya Gaadi,
39Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.
40Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
41Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye.
42Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.
43Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo.
44Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.
45Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.