We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yeremiya 39

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yeremiya 38 Yeremiya Yeremiya 40 →

1Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza.

2Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa.

3Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi.

4Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.

5Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango.

6Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna.

7Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.

8Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi.

9Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni.

10Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.

11Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti,

12“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.”

13Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni,

14ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.

15Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti,

16“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe.

17Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo b’otya.

18Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”

← Yeremiya 38 Yeremiya Yeremiya 40 →

Yeremiya 39 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™