1“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
2Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
3Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,
4Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
5Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
6Walibeerawo olunaku
7Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
8Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
9Balikomawo nga bakaaba,
10“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
11Kubanga Mukama aligula Yakobo
12Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
13Abawala balizina beesiime,
14Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
15Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
16Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
17Waliwo essuubi,
18“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
19Nga mmaze okubula,
20Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
21“Muteeke ebipande ku nguudo;
22Olituusa ddi okudda eno n’eri,
23Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’
24Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe.
25Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
26Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
27“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo.
28Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama.
29“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,
30Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
31Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
32Teribeera ng’endagaano eri
33“Eno y’endagaano gye nnaakola
34Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
35Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
36“Amateeka gano
37Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
38“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.
39Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa.
40Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”