We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yeremiya 18

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yeremiya 17 Yeremiya Yeremiya 19 →

1Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti,

2“Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.”

3Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga.

4Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

5Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,

6“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri.

7Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa,

8era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola.

9Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba,

10era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

11“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’

12Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

14Omuzira oguli ku Lebanooni

15Naye ate abantu bange banneerabidde,

16Ensi yaabwe ya kusigala matongo,

17Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe

18Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19Ompulirize, Ayi Mukama,

20Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?

21Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,

22Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,

23Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,

← Yeremiya 17 Yeremiya Yeremiya 19 →

Yeremiya 18 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™