We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yokaana 14

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yokaana 13 Yokaana Yokaana 15 →

1“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.

2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.

3Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.

4Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”

5Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”

6Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.

7Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

8Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”

9Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’

10Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze.

11Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.

12“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.

13Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.

14Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

15“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

16nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,

17Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.

18Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.

19Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu.

20Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.

21Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”

22Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?”

23Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.

24Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.

25Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.

26Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.

27Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

28“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa.

29Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize.

30Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza.

31Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde.

← Yokaana 13 Yokaana Yokaana 15 →

Yokaana 14 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™