We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yokaana 1

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

Yokaana Yokaana 2 →

1Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo1:1 Kigambo ye Kristo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.

2Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

3Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.

4Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu.

5Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

6Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma,

7eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye.

8Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.

9Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.

10Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera.

11Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza.

12Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

13Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

14Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

15Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ”

16Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa.

17Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima.

18Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

19Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”

20Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”

22Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?”

23N’abaddamu nti,

24Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo.

25Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi,

27anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”

28Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

29Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.

30Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’

31Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu,

33n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’

34Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

35Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri,

36Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”

37Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu.

38Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”

39N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.”

40Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero.

41Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo).

42Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.

43Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero.

45Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

47Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

49Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu.

51Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

Yokaana Yokaana 2 →

Yokaana 1 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™