1Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2nti,
3Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
5Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,
7“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika
8“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,
9Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
10Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.