1Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
2Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,
3Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
4“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
5Weewaawo, omwenge mulimba
6“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,
7Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
8Kubanga onyaze amawanga mangi,
9Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
10Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
11Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
12Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
13Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
14Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
15Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
16Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
17Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
18“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
19Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
20Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: