1Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
3Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
4“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
5Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
6Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
8ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
9“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
10bwe n’abiteekerawo we bikoma
11bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
12“Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
13eryoke ekwate ensi w’ekoma
14Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
15Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
16“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
17Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
18Wali otegedde obugazi bw’ensi?
19“Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
20Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
21Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
22“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
23Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
24Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
25Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
26Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
27n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
28Enkuba erina kitaawe waayo?
29Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
30amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
31“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
32Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
33Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
34“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
35Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
36Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
37Ani alina amagezi agabala ebire?
38enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
39“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
40bwe zeezinga mu mpuku zaazo,
41Ani awa namuŋŋoona emmere,