1Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa.
2N’agamba nti,
3“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
4Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
5Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
6Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
7Yee, lubeere lugumba,
8Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
9Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
11“Lwaki saafa nga nzalibwa,
12Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
13Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
14wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
15oba n’abalangira abaalina zaabu,
16Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
17Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
18Abasibe gye bawummulira awamu,
19Abakopi n’abakungu gye babeera;
20“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
21era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
22abajaguza ekisukkiridde,
23Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
24Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
25Ekintu kye nantiiranga ddala
26Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,