1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,
2“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
3Amaggye ge gasobola okubalibwa?
4Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
5Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
6Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,