1“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
2Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
3Batwala endogoyi ya mulekwa
4Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
5Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
6Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
7Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
8Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
9Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
10Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
11Basogolera emizabbibu ku mayinja,
12Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
13“Waliwo abo abajeemera omusana,
14Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
15Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
16Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
17Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
18Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
19Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
20Olubuto lunaamwerabiranga;
21Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
22Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
23Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
24Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
25“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,