1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
3Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
4“Akukangavvula lwa kumutya
5Okwonoona kwo si kunene nnyo?
6Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
7Tewawa bakoowu mazzi,
8wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
9Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
10Emitego kyegivudde gikwetooloola.
11Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
12“Katonda tali waggulu mu ggulu?
13Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
14Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
15Onoosigala mu kkubo ery’edda
16Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
17Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
18Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
19Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
20‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
21“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
22Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
23Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
24n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
25awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
26Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
27Olimusaba, alikuwulira,
28Ky’olisalawo kirikolebwa,
29Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
30Alinunula n’oyo aliko omusango,