We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Isaaya 39

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Isaaya 38 Isaaya Isaaya 40 →

1Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye.

2Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

3Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”

4N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”

5Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba:

6Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.

7N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”

8Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”

← Isaaya 38 Isaaya Isaaya 40 →

Isaaya 39 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™