1Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba.
2Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye.
3Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
4Labusake n’abagamba nti,
5Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere?
6Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’
7Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?
8“ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala.
9Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri?
10Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”
11Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya36:11 Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc. ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
13Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli.
14Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya.
15Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
16“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye,
17okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18“Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli?
19Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange?
20Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.