1“Muweereze abaana b’endiga
2Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
3“Tuwe ku magezi,
4Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
5Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
6Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
7Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
8Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
9Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
10Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
11Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
12Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.
14Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”