1Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
2N’amawanga mangi galibayamba
3Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
4oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:
5Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
6Ogwakubanga olutata
7Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
8Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
9Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
10Abo bonna balyogera
11Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
12Ng’ogudde okuva mu ggulu,
13Wayogera mu mutima gwo nti,
14ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
15Naye ossibbwa wansi emagombe,
16Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
17Eyafuula ensi okuba eddungu
18Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
19naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
20Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
21Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
22“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
23“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
24Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,
25Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
26Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
27Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
28Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
29Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
30Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
31Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
32Kale kiki kye banaddamu