1“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
2Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
3Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
4“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.
5Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe.
6Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.
7“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola.
8Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
9Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
10Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
11Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
12“Amawanga geeteeketeeke
13Kozesa oluwabyo lwo,
14Abantu bukadde na bukadde
15Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
16Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
17“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
18“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
19Misiri erifuuka amatongo
20Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
21Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,