1Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,
2ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi.
3Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
4Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.
5Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
6Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
7Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana.
8bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
9bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372),
10bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652),
11bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818),
12bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
13bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845),
14bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760),
15bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648),
16bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628),
17bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322),
18bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667),
19bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067),
20bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano (655),
21bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98),
22bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328),
23bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324),
24bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112),
25bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano (95).
26Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188),
27ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128),
28ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42),
29ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743),
30ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
31ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
32ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),
33ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52),
34ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
35ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320),
36ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345),
37ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721),
38n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
39Bano be bakabona:
40bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
41bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247),
42ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
43Ne bano be Baleevi:
44Abayimbi:
45Abaakuumanga wankaaki baali:
46Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:
47bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
48bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,
49bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,
50bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,
51bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,
52bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
53bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
54bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
55bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
56bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
57Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano:
58bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
59bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri,
60Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
61Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
62bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642).
63Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,
64Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.
65Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.
66Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
67obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245).
68Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245),
69n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
70Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika.
71Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa.
72Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.