We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Nekkemiya 12

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Nekkemiya 11 Nekkemiya Nekkemiya 13 →

1Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:

2ne Amaliya, ne Malluki, ne Kattusi,

3ne Sekaniya, ne Lekumu, ne Meremoosi,

4ne Iddo, ne Ginnesoyi, ne Abiya,

5ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biruga,

6ne Semaaya, ne Yoyalibu, ne Yedaya,

7ne Sallu, ne Amoki, ne Kirukiya ne Yedaya.

8Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza.

9Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.

10Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu,

11Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani,

12Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu b’ennyumba za bakabona:

13eya Ezera, yali Mesullamu,

14eya Malluki, yali Yonasaani;

15eya Kalimu, yali Aduna;

16eya Iddo, yali Zekkaliya;

17eya Abiya, yali Zikuli;

18eya Biruga, yali Sammuwa;

19eya Yoyalibu, yali Mattenayi;

20eya Sallayi, yali Kallayi;

21eya Kirukiya, yali Kasabiya;

22Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi.

23Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo.

24Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.

25Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango.

26Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.

27Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga.

28Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo by’Abanetofa,

29n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi.

30Bakabona n’Abaleevi bwe baamala okwetukuza olw’emikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, n’emiryango ne bbugwe.

31Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa.

32Kosaaya ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ba Yuda ne babagoberera,

33nga bali wamu ne Azaliya, ne Ezera, ne Mesullamu,

34ne Yuda, ne Benyamini, ne Semaaya, ne Yeremiya,

35ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu;

36ne banne abaamuyambangako nga be bano: Semaaya, ne Azuleeri, ne Miralayi, ne Giralayi, ne Maayi, ne Nesaneeri, ne Yuda, ne Kanani, nga balina ebivuga ebyalagirwa Dawudi omusajja wa Katonda, era Ezera omuwandiisi, ye yabakulemberangamu.

37Bwe baatuuka ku Mulyango gw’Oluzzi, ne bambuka amadaala g’Ekibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogw’Amazzi, oguli ku luuyi olw’ebuvanjuba.

38Ekibinja ekyokubiri eky’abayimbi, ne kiraga ku luuyi olwolekedde luli bali gye baali balaze. Nze ne kimu kyakubiri eky’abantu ne tubagoberera okutuukira ddala waggulu ku bbugwe, ne tuyita ku Munaala gw’Ebikoomi ne tutuuka ku Bbugwe Omugazi,

39ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.

40Ebibinja byombi eby’abayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ne tutuula,

41awamu ne bakabona bano: Eriyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eriwenayi, ne Zekkaliya, ne Kananiya nga balina amakondeere;

42Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe.

43Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.

44Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi.

45Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali.

46Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.

47Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.

← Nekkemiya 11 Nekkemiya Nekkemiya 13 →

Nekkemiya 12 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™