1Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.
2Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
3Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
4Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
5Simyoni ne Leevi baaluganda,
6Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
7Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
8Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
9Yuda, mwana w’empologoma.
10Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
11Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
12Amaaso ge galimyuka wayini,
13Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
14Isakaali ndogoyi ya maanyi,
15yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
16Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
17Ddaani anaaba musota mu kkubo,
18Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.
19Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
20Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
21Nafutaali mpeewo ya ddembe,
22Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
23Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
24naye omutego gwe ne gunywera,
25olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
26Omukisa gwa kitaawo
27Benyamini musege ogunyaga,
28Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
29Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
30mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu.
31Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.
32Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”
33Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.