1Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.
2Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi,
3ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
4Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri;
5ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo.
7Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe.
8Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.
9Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.
10Batabani be baali:
11Batabani ba Erifaazi baali
12Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
13Bano be batabani ba Leweri:
14N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali
15Bano be bakulu b’enda ya Esawu:
16ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
17Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:
18Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:
19Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.
20Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba
21ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
22Batabani ba Lotani baali
23Batabani ba Sobali be ba
24Aba Zibyoni, be ba
25Abaana ba Ana be ba
26Bo batabani ba Disoni be ba
27Aba Ezeri be ba
28Ate aba Disani be ba
29Bano be bakulu b’enda za Bakooli:
30ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
31Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
34Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
35Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
36Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
37Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
38Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
39Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
40Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:
41ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43ne Magidiyeri, ne Iramu.