1Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
2Batabani ba Yafeesi:
3Batabani ba Gomeri be bano:
4Batabani ba Yivani baali:
5(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
6Batabani ba Kaamu be bano:
7Batabani ba Kuusi be bano:
8Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi.
9Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
10Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.10:10 Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda.
11Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne
12Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa
14ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15Kanani ye yazaala
16n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi,
17n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini,
18n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna.
19Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
21Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22Abaana ba Seemu be bano:
23Batabani ba Alamu:
24Alupakusaadi ye kitaawe wa10:24 yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa Seera Seera.
25Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,
26Yokutaani ye yali kitaawe wa
27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula,
28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,
29ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.