We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Abaefeso 5

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Abaefeso 4 Abaefeso Abaefeso 6 →

1Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa.

2Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

3Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.

4Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.

5Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.

6Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.

7Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.

8Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana,

9ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima,

10nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe.

11Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.

12Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.

13Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri.

14Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

15Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi,

16nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.

17Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala.

18Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.

19Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe.

20Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

21Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.

22Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe.

23Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.

24Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

25Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo.

26Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye,

27alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.

28N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.

29Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,

30kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.

31“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.”

32Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye.

33Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

← Abaefeso 4 Abaefeso Abaefeso 6 →

Abaefeso 5 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™