1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
3kubanga olunaku luli kumpi,
4Ekitala kirirumba Misiri,
5Obuwesiyopya, ne Puuti30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
6“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
7Balirekebwawo
8Olwo balimanya nga nze Mukama
9“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
10“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
11Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
12Ndikaza emigga gya Kiyira,
13“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
14Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
15Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
16Ndikuma omuliro ku Misiri,
17Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
18Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
19Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
20Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
21“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.
22Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.
23Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.
24Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.
25Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.
26Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”