We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Okuva 15

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Okuva 14 Okuva Okuva 16 →

1Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

2Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,

3Mukama mulwanyi;

4Amagaali ga Falaawo n’eggye lye

5Obuziba bubasaanikidde;

6“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,

7Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,

8Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,

9“Omulabe n’ayogera nti,

10Naye wakunsa embuyaga zo,

11Ani akufaanana, Ayi Mukama,

12“Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,

13Mu kwagala kwo okutaggwaawo,

14Amawanga galikiwulira ne gakankana,

15Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;

16Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.

17Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,

18Mukama anaafuganga

19Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja.

20Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.

21Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

22Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi.

23Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala.

24Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

26ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

← Okuva 14 Okuva Okuva 16 →

Okuva 15 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™