We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Ezera 4

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Ezera 3 Ezera Ezera 5 →

1Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini4:1 Ababenyamini baali Basamaliya bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri,

2ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.”

3Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”

4Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba.

5Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka.

6Awo ku mirembe gya Akaswero4:6 Akaswero ye Alutagizerugizi nga ky’ajje alye obwakabaka, abalabe baabwe ne baawandiika ebintu eby’obulimba ne baloopa abantu ba Yuda ne Yerusaalemi.

7Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ez’Aramayika ne mu lulimi Olwaramayika.

8Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi.

9Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi n’abakungu, n’Abaperusi, n’Abalukevi, n’Abababulooni, n’Abasusanuki, n’Abaweramu,

10n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti:

11Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti,

12Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe.

13Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa.

14Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka,

15banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa.

16Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati.

17Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti:

18Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.

19Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ng’ekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka4:19 Ekyo kyogera ku bujeemu bwa Keezeekiya ne Yekoyakimu, ne Zeddekiya, era ng’obujeemu n’ekyejo byakolebwanga omwo.

20Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo.

21Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira.

22Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?

23Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso.

24Awo omulimu ku nnyumba ya Katonda mu Yerusaalemi ne guyimirira okutuusa omwaka ogwokubiri ogw’omulembe gwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.

← Ezera 3 Ezera Ezera 5 →

Ezera 4 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™