We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Ezera 2

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Ezera 1 Ezera Ezera 3 →

1Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.

2Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya2:2 Nekkemiya ono, si ye oli eyawandiika ekitabo kya Nekkemiya., ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.

3bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),

4bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),

5bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775),

6bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),

7bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

8bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945),

9bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760),

10bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642),

11bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),

12bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),

13bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),

14bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),

15bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454),

16bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98),

17bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),

18bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),

19bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),

20bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano (95).

21Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),

22abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga (56),

23abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),

24abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42),

25abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),

26abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),

27abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),

28abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),

29abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52),

30abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),

31abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

32abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),

33abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725),

34abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),

35n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).

36Bano be bakabona:

37bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),

38bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),

39bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).

40Ne bano be Baleevi:

41Bano be bayimbi:

42Bano be baakuumanga2:42 Abaakuumanga baali Baleevi abaavunaanyizibwanga okukuuma omulyango gwa Yeekaalu. enzigi za yeekaalu:

43Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:

44bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,

45bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,

46bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,

47bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,

48bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,

49bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,

50bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,

51bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,

52bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,

53bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,

54bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.

55Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:

56bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,

57bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.

58Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).

59Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.

60Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).

61Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,

62Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu.

63Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.

64Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360),

65okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi2:65 Okugatta ku bayimbi Abaleevi, waabangawo n’abayimbi abalala abaayimbanga mu mbaga ez’enjawulo ne mu nnyimbe abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200).

66Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245),

67n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).

68Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda.

69Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.

70Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.

← Ezera 1 Ezera Ezera 3 →

Ezera 2 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™