1Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.
2Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa.
3Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna.
4Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa.
5Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu.
6Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.
7Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima?
8Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita.
9Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.
10Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani.
11Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo.
12Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.
13Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.
14Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
15Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza.
16Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri.
17Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.
18Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.
19Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu,
20Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu,
21ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
22Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,
23obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
24N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo.
25Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.
26Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.