1Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
2Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
3ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
4ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
5ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
6waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
7n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
8waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
9Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe?
10Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu.
11Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
12Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu.
13Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.
14Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
15Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
16Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,
17Ne njogera munda yange nti,
18Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo.
19Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
20Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda.
21Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
22Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.