We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Ekyamateeka Olwokubiri 27

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Ekyamateeka Olwokubiri 26 Ekyamateeka Olwokubiri Ekyamateeka Olwokubiri 28 →

1Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga.

2Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.

3Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.

4Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.

5Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma.

6Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo.

7Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo.

8Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”

9Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.

10Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”

11Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti,

12Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini.

13Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali.

14Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:

15“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”

16“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”

17“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”

18“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”

19“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”

20“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”

21“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”

22“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”

23“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”

24“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”

25“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”

26“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”

← Ekyamateeka Olwokubiri 26 Ekyamateeka Olwokubiri Ekyamateeka Olwokubiri 28 →

Ekyamateeka Olwokubiri 27 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™