1Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya.
2Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.
3N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”
4Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu.
6Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe,
7era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.”
8Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala.
9Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
10Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.
11Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.
12Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.
13Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina.
14Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
15Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
16Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala.
17N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale.
18Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.”
19Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago17:19 Aleyopaago kaali kasozi okwali lubaale ow’olutabaalo Ale. nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya,
20kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.”
21Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
22Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo;
23kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:
24“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu,
25era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
26Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago.
27Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala.
28Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
29“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.
30Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya.
31Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
32Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”
33Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe.
34Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.