We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Okubikkulirwa 5

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Okubikkulirwa 4 Okubikkulirwa Okubikkulirwa 6 →

1Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu.

2Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?”

3Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu.

4Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu.

5Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo.”

6Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi.

7N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka.

8Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu.

9Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,

10N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga,

11Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali.

12Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

13Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,

14Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.

← Okubikkulirwa 4 Okubikkulirwa Okubikkulirwa 6 →

Okubikkulirwa 5 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™