We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Okubikkulirwa 16

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Okubikkulirwa 15 Okubikkulirwa Okubikkulirwa 17 →

1Awo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.”

2Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

3Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

4Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi.

5Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti,

6Olw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi,

7Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti,

8Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu.

9Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

10Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji,

11ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

12Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.

13Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba.

14Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.

15“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”

16Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

17Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”

18Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi.

19Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda.

20Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako.

21N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.

← Okubikkulirwa 15 Okubikkulirwa Okubikkulirwa 17 →

Okubikkulirwa 16 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™