1Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
2Mugende mulabe e Kalune;
3Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
4Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
5Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
6Mwekatankira wayini,
7Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
8Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
9Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa.
10Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11Laba Mukama alagidde,
12Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
13Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
14Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,