We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

2 Basessaloniika 3

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 2 Basessaloniika 2 2 Basessaloniika

1Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe,

2tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza.

3Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.

4Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo.

5Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.

6Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.

7Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde,

8tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe.

9Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga.

10Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

11Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo.

12Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde.

13Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

14Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.

15So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ng’owooluganda eyetaaga okulabulwa.

16Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

17Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.

18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.

← 2 Basessaloniika 2 2 Basessaloniika

2 Basessaloniika 3 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™