1Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.
3Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.
4Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika.
5Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo.
6Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye.
7Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.
8Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba.
9Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa.
10Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.
11Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:
12Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye.
13Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa,
14Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza.
15Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.
16Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.
17Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto,
18abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza.
19Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”
20Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa.
21Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
22Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.
23Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana.
24Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,
25era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,
26ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.