We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

2 Ebyomumirembe 3

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 2 Ebyomumirembe 2 2 Ebyomumirembe 2 Ebyomumirembe 4 →

1Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.

2Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.

3Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda.

4Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu.

5Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu.

6N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu.

7Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.

8N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu.

9Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.

10Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu.

11Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala.

12N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala.

13Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye.

14N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.

15Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu.

16N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo.

17N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini3:17 Yakini amakulu nti yeeteekawo, n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi3:17 Bowaazi amakulu nti mu ye mwe muli amaanyi.

← 2 Ebyomumirembe 2 2 Ebyomumirembe 2 Ebyomumirembe 4 →

2 Ebyomumirembe 3 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™