We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

2 Abakkolinso 3

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 2 Abakkolinso 2 2 Abakkolinso 2 Abakkolinso 4 →

1Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala?

2Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna,

3ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

4Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo.

5Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda,

6oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

7Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako,

8kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa?

9Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa.

10Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino.

11Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

12Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi,

13so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako.

14Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.

15Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka.

16Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo.

17Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe.

18Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

← 2 Abakkolinso 2 2 Abakkolinso 2 Abakkolinso 4 →

2 Abakkolinso 3 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™